Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | OBULIMBA OBULEETERA ABANTU OKUKYAWA KATONDA

Obulimba Obuleetera Abantu Okulowooza nti Katonda Mukambwe

Obulimba Obuleetera Abantu Okulowooza nti Katonda Mukambwe

BANGI KYE BAKKIRIZA

“Abantu abalina ebibi bwe bafa, emyoyo gyabwe gigenderawo mu ggeyeena ne gibonerezebwa mu ‘muliro ogutazikira.’” (Catechism of the Catholic Church)

AMAZIMA AGALI MU BAYIBULI

“Abafu tebaliiko kye bamanyi.” (Omubuulizi 9:5) Okuva bwe kiri nti abafu tebaliiko kye bamanyi, bayinza batya okubonyaabonyezebwa mu “muliro ogutazikira”?

Mu Bayibuli, ekigambo “Ggeyeena” ekyavvuunulwa okuva mu kigambo ky’Oluyonaani Geʹen·na, kabonero ak’okuzikirizibwa nga tewali ssuubi lya kuzuukira, so si kifo emyoyo gye gibonyabonyezebwa emirembe gyonna mu muliro ogutazikira. (Matayo 5:29) Ate era Bayibuli eyogera ku “nnyanja ey’omuliro n’ekibiriiti.” (Okubikkulirwa 20:10) Ennyanja ey’omuliro kye ki? Bayibuli ennyonnyola nti: “Ennyanja ey’omuliro etegeeza okufa okw’okubiri.” (Okubikkulirwa 20:14; 21:8) N’olwekyo, si kifo kya ddala ekirimu omuliro. ‘Okubonyaabonyezebwa emirembe n’emirembe’ kitegeeza “okufa okw’okubiri” nga tewali ssuubi lya kuzuukira.

LWAKI KIKULU OKUMANYA AMAZIMA?

Enjigiriza eyo eraga nti Katonda mukambwe era ereetera abantu okumukyawa, so si kumwagala. Rocío abeera mu Mexico agamba nti: “Okuva mu buto nayigirizibwanga nti Katonda ayokya abantu mu muliro ogutazikira. Ekyo kyantiisanga nnyo era nnali sirowooza nti Katonda alina okwagala. Nnali ndowooza nti mukambwe nnyo era nti tasonyiwa.”

Rocío bwe yayiga Bayibuli n’ategeera nti Katonda mwenkanya era nti abafu tebabonyaabonyezebwa mu muliro ogutazikira, endowooza ye yakyuka. Agamba nti: “Nnafuna obuweerero. Nnali nga gwe baali batikkudde omugugu omuzito ennyo. Nnakitegeera nti Katonda ayagala tube mu bulamu obusingayo obulungi era atwagala nnyo. Ekyo kyandeetera okumwagala. Alinga taata atambula n’omwana we ng’amukutte ku mukono era amwagaliza ebirungi ebyereere.”​—Isaaya 41:13.

Bangi bafuba okuweereza Katonda olw’okuba batya okwokebwa mu muliro ogutazikira, naye Katonda tayagala omuweereze olw’okutya okubonerezebwa. Wabula, Yesu yagamba nti: “Oteekwa okwagala Yakuwa Katonda wo.” (Makko 12:29, 30) Bwe tukitegeera nti leero Katonda takola bitali bya bwenkanya, tusobola okuba abakakafu nti ne mu biseera eby’omu maaso ajja kusala emisango mu bwenkanya. Okufaananako Eriku mukwano gwa Yobu, naffe tusobola okugamba nti: “Mazima Katonda taakolenga bubi, so n’Omuyinza w’ebintu byonna [taakolenga bitali bya bwenkanya].”​—Yobu 34:12.