Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OKUFUNA ESSANYU MU MAKA

Yogera n’Omwana Wo Omutiini​—Nga Temukaayana

Yogera n’Omwana Wo Omutiini​—Nga Temukaayana

“Muwala wange bwe yaweza emyaka 14, yatandika okunnyooma. Bwe nnamugambanga nti ‘Jjangu tulye eky’eggulo,’ yanzirangamu nti ‘Bwe nnaaba mpulira nga njagala kulya, nja kujja ndye.’ Bwe nnamubuuzanga obanga amaze okukola emirimu gy’awaka, yanzirangamu nti ‘Tonsumbuwa!’ Emirundi mingi, twakaayananga.”​—MAKI, OW’OMU JAPAN. *

Bw’oba ng’olina omwana omutiini, ojja kufuna okusoomoozebwa kwa maanyi era kijja kukwetaagisa okuba omugumiikiriza. Maria ow’omu Brazil alina muwala we ow’emyaka 14 agamba nti, “Muwala wange bw’agaana okuŋŋondera kimpisa bubi nnyo, era tutandika okukaayana.” Carmela, abeera mu Yitale, naye ayolekagana n’okusoomoozebwa kwe kumu. Agamba nti: “Nze ne mutabani wange tukaayana nnyo n’atuuka n’okweggalira mu kisenge kye.”

Lwaki abatiini abamu bakaayana ne bazadde baabwe? Kyandiba nga mikwano gyabwe gye giboonoona? Oboolyawo. Bayibuli eraga nti mikwano gy’omuntu gisobola okumuyamba okuba n’empisa ennungi oba okwonoona empisa ze. (Engero 13:20; 1 Abakkolinso 15:33) Ate era n’eby’okwesanyusaamu ebisinga obungi abavubuka bye banyumirwa ensangi zino bibaleetera okulowooza nti si kikyamu obutawa balala kitiibwa oba okuba omujeemu.

Naye waliwo ebintu ebirala ebiyinza okubaako kye bikola ku nneeyisa y’omwana wo omutiini by’olina okulowoozaako. Ka tulabe ebimu ku byo.

AKULAAKULANYA ‘OBUSOBOZI BWE OBW’OKUTEGEERA’

Omutume Pawulo yawandiika nti: “Bwe nnali omuto, nnayogeranga ng’omuto, nnalowoozanga ng’omuto, nnategeeranga ng’omuto; naye olw’okuba kaakano nkuze, ndeseeyo engeri z’ekito.” (1 Abakkolinso 13:11) Okusinziira ku bigambo bya Pawulo ebyo, abaana n’abantu abakulu balowooza mu ngeri za njawulo. Mu ngeri ki?

Abaana balowooza nti ekintu bwe kitaba kituufu kiba kikyamu. Kyokka bo abantu abakulu bwe baba balina kye bagenda okusalawo, basooka kukifumiitirizaako. Ng’ekyokulabirako, abantu abakulu bayinza okusooka okwebuuza obanga ekintu kye bagenda okusalawo kituufu, era n’engeri gye kinaakwata ku balala. Naye bo abatiini baba bakyayiga buyizi okulowooza mu ngeri eyo.

Bayibuli ekubiriza abavubuka okukozesa “amagezi” gaabwe. (Engero 1:4) Mu butuufu, Bayibuli ekubiriza Abakristaayo bonna okukozesa “obusobozi bwabwe obw’okutegeera.” (Abebbulaniya 5:14; Abaruumi 12:1, 2) Naye oluusi omwana wo omutiini ayinza okukuwakanya, ne mu bintu ebitono ennyo. Oba ayinza okwoleka endowooza enkyamu. (Engero 14:12) Mu mbeera ng’eyo, oyinza otya okutereeza endowooza ye mu kifo ky’okukaayana naye?

GEZAAKO KINO: Kijjukire nti omwana wo omutiini ayiga buyizi okukozesa obusobozi bwe obw’okulowooza era ayinza okuba nga tajja kunywerera ku ndowooza ye. Okusobola okumanya ekyo kyennyini ky’alowooza, sooka omusiime olw’okukozesa obusobozi bwe obw’okulowooza. Oyinza okumugamba nti: “Engeri gy’olowoozaamu ensanyusa nnyo, wadde nga sikkiriziganya n’ezimu ku ndowooza zo.” Oluvannyuma, muyambe okufumiitiriza ku ndowooza ye. Oyinza okumubuuza nti: “Olowooza ky’oyogedde kikola mu buli mbeera?” Omwana wo ayinza okufumiitiriza ku ekyo ky’omugambye n’asalawo okukyusa endowooza ye.

Weegendereze: Bw’oba okubaganya ebirowoozo n’omwana wo omutiini, tolowooza nti ajja kukkiririzaawo ky’omugamba. Wadde ng’ayinza okulabika ng’atafaayo ku by’omugamba, ayinza okujjukira ebintu bingi mu ebyo by’omugambye. Mu nnaku ntono oyinza okulaba ng’omwana wo omutiini akkirizza endowooza yo, era n’akugamba n’okukugamba nti naye bw’atyo bwe yali alowooza.

Kenji abeera mu Japan agamba nti: “Oluusi nze ne mutabani wange ebintu ebyatukaayanyanga byabanga bitono nnyo, gamba ng’okudiibuuda ebintu oba okuyiikiriza muto we. Naye emirundi egisinga ayinza okuba nga yali ayagala mmubuuze endowooza ye oba mmugambe nti, ‘Ooh, bwe kityo bwe kiri,’ oba ‘bw’otyo bw’olowooza.’ Kati nkiraba nti singa nnayogeranga ebigambo ng’ebyo, oboolyawo tetwandikaayanyenga.”

AYIGA OKWESALIRAWO

Ekimu ku bintu ebikulu mu kukuza omwana, kwe kumuyamba okweteekerateekera ekiseera lw’anaava awaka yeetongole ng’omuntu ow’obuvunaanyizibwa. (Olubereberye 2:24) Omwana omutiini yeetaaga okuyiga okwesalirawo n’okumanya emitindo gy’anaatambulizaako obulamu bwe. Omwana ng’oyo bw’apikirizibwa okukola ekintu ekibi, takoma bukomi ku kulowooza ku binaavaamu, naye era yeebuuza nti: ‘Mitindo ki gye ngoberera? Omuntu agoberera emitindo egyo yandikoze ki mu mbeera eno?’​—2 Peetero 3:11.

Bayibuli eyogera ku muvubuka ayitibwa Yusufu eyalina emitindo gy’empisa gy’agoberera. Ng’ekyokulabirako, mukyala wa Potifaali bwe yamupikiriza okwegatta naye, Yusufu yagamba nti: “Nnyinza ntya okwonoona, okwenkanidde wano, n’okusobya [mu maaso ga] Katonda?” (Olubereberye 39:9) Wadde nga tewaaliwo tteeka ligaana bwenzi, Yusufu yali amanyi endowooza ya Katonda ku nsonga eyo. N’ekisinga obukulu, ebigambo “nnyinza ntya” biraga nti yali ayize okwesalirawo ng’agoberera emitindo gya Katonda.​—Abeefeso 5:1.

Omwana wo omutiini naye aba ayiga kwesalirawo. Ekyo kiba kirungi, kubanga banne bwe banaamupikiriza okukola ekintu ekibi tajja kwekkiriranya. (Engero 1:10-15) Ku luuyi olulala, olw’okuba ayiga kwesalirawo oluusi ayinza okukuwakanya. Ekyo bwe kibaawo, kiki ky’oyinza okukola?

GEZAAKO KINO: Mu kifo ky’okutandika okukaayana naye, oyinza okuddamu ekyo ky’ayogedde. Oyinza okugamba nti: “Ka nsuubire nti nkutegedde bulungi. Ogambye nti . . . ” Oluvannyuma mubuuze nti, “Lwaki olowooza bw’otyo?” oba “Lwaki osazeewo bw’otyo?” Fuba okumanya ekiri ku mutima gw’omwana wo era muleke awe endowooza ye. Bwe kiba nti ekyo omwana wo ky’ayagala okukola si kikyamu, oyinza okumuleka n’akikola wadde nga ggwe si kye wandyagadde. Ekyo kijja kumulaga nti omuwa ekitiibwa.

Omwana bw’ayiga okwesalirawo kimuganyula nnyo. Ate oba ne Bayibuli eraga nti Abakristaayo tebasaanidde kuba ng’abaana abato ‘abasuukundibwa amayengo, nga bazzibwa eno n’eri embuyaga eya buli njigiriza.’ (Abeefeso 4:14) N’olwekyo, leka omwana wo ayige okwesalirawo era mukubirize okukikola.

Ivana, abeera mu Czech Republic agamba nti, “Bwe mpuliriza obulungi bawala bange, baba beetegefu okukola kye mbagamba wadde nga kiba kyawukana ku ekyo kye baagala. Nneewala okubakakaatikako endowooza yange, era mbaleka bayige okwesalirawo.”

NNYWERERA KU KITUUFU, NAYE TOBA MUKAKANYAVU

Okufaananako abaana abato, abatiini abamu baayiga akakodyo ak’okuleeta ensonga y’emu enfunda n’enfunda bazadde baabwe bekkiriranye. Ekyo bwe kiba kitera okubaawo mu maka go, weegendereze. Wadde nga bwe wekkiriranya oyinza okufuna obuweerero, kireetera omwana wo okulowooza nti bw’akaayana afuna ky’ayagala. Kiki ky’oyinza okukola mu mbeera eyo? Yesu yagamba nti: “Ekigambo kyammwe Yee, kibeerenga Yee, n’ekigambo kyammwe Nedda, kibeerenga Nedda.” (Matayo 5:37) Omwana wo bw’amanya nti onywerera ku ekyo ky’oba oyogedde tajja kukaayana naawe.

Mu kiseera kye kimu toba mukakanyavu. Ng’ekyokulabirako, leka omwana wo akunnyonnyole ensonga lwaki alowooza nti oluusi kiyinza okumwetaagisa okusussaamuko ku ssaawa ze mwamugamba okukomerawo awaka. Bw’okola bw’otyo oba tewekkiriranyizza, wabula oba okoledde ku magezi gano agali mu Bayibuli: “Obutali bukakanyavu bwammwe bweyoleke eri abantu bonna.”​—Abafiripi 4:5.

GEZAAKO KINO: Mukubaganye ebirowoozo ng’amaka ku ssaawa abaana bammwe ze basaanidde okukomerawo awaka ne ku mateeka amalala ag’awaka. Wuliriza bulungi abaana bo era sooka olowooze ku byonna ebizingirwamu nga tonnasalawo. Roberto, omuzadde abeera mu Brazil agamba nti, “Kiba kirungi abaana ne bakiraba nti bazadde baabwe beetegefu okubakkiriza okukola ekyo kye baba babasabye singa kiba tekikontana n’ebyo Bayibuli by’eyigiriza.”

Kyo kituufu nti teri muzadde n’omu atuukiridde. Bayibuli egamba nti: “Emirundi mingi ffenna tusobya.” (Yakobo 3:2) Bw’okizuula nti naawe oli mu nsobi, tekiba kibi kwetondera mwana wo. Okukkiriza ensobi yo kiraga nti oli muwombeefu era oba oteerawo omwana wo ekyokulabirako ekirungi.

Kenji, abeera mu Japan agamba nti: “Lumu twakaayana nnyo ne mutabani wange, naye obusungu bwange bwe bwakkakkana nnamwetondera. Ekyo naye kyamuyamba okukkakkana era yatandika okumpuliriza.”

^ Amannya mu kitundu kino gakyusiddwa.

WEEBUUZE . . .

  • Mu ngeri ki gye nnyinza okuba nga nviirako enkaayana ezibaawo wakati wange n’omwana wange omutiini?

  • Nnyinza ntya okukozesa amagezi agaweereddwa mu kitundu kino okwongera okutegeera omwana wange?

  • Kiki kye nnyinza okukola okusobola okwogera n’omwana wange nga tetukaayana?