Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

 OKUKUBAGANYA EBIROWOOZO

Obwakabaka bwa Katonda Bwatandika Ddi Okufuga? (Ekitundu 1)

Obwakabaka bwa Katonda Bwatandika Ddi Okufuga? (Ekitundu 1)

Ekitundu kino kiraga engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye bakubaganyaamu ebirowoozo n’abantu abalala. Ka tugambe nti Omujulirwa wa Yakuwa ayitibwa Cameron azze mu maka ga John.

WEEYONGERE ‘OKUNOONYA’ OKUTEGEERA

Cameron: John, nnyumirwa nnyo okukubaganya naawe ebirowoozo ku Bayibuli. * Lwe twasembayo okukubaganya ebirowoozo, wambuuza ekibuuzo ekikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Wayagala okumanya ensonga lwaki ffe Abajulirwa ba Yakuwa tugamba nti Obwakabaka bwa Katonda bwatandika okufuga mu 1914.

John: Nnasoma ekimu ku bitabo byammwe nga mugamba nti Obwakabaka bwa Katonda bwatandika okufuga mu 1914. Nnayagala okumanya obanga ekyo kituufu kubanga mugamba nti enjigiriza zammwe zonna zeesigamiziddwa ku Bayibuli.

Cameron: Kituufu, enjigiriza zaffe zonna zeesigamiziddwa ku Bayibuli.

John: Nnasomako Bayibuli ne ngimalako, naye saalabamu lunyiriri lwogera ku mwaka 1914. Mu butuufu, omwaka ogwo nnagunoonya ne mu Bayibuli eziri ku Intaneeti, naye gwambula.

Cameron: John, nkwebaza olw’ebintu bibiri. Ekisooka, okuba nti wasoma Bayibuli n’ogimalako. Ekyo kiraga nti oyagala nnyo Bayibuli.

John: Njaagala nnyo, kubanga teri kitabo kigisinga.

Cameron: Nzikiriziganya naawe. Eky’okubiri, nkwebaza olw’okunoonyereza mu Bayibuli osobole okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo kye weebuuza. Ekyo kirungi nnyo kubanga Bayibuli yennyini etukubiriza okweyongera ‘okunoonya’ okutegeera. *

John: Weebale kusiima. Njagala nnyo okumanya ebikwata ku mwaka ogwo. Mu butuufu, nneeyongera okunoonyereza, era waliwo bye nnazuula ebikwata ku mwaka ogwo mu katabo ke tusoma. Bwe mba nzijukira bulungi, koogera ku kirooto kabaka omu kye yaloota ekikwata ku muti omunene ogwatemebwa ne guddamu okuloka.

Cameron: Oli mutuufu. Obwo bunnabbi, era buli mu Danyeri essuula 4. Bukwata ku kirooto Kabaka Nebukadduneeza owa Babulooni kye yaloota.

John: Bwebwo bwennyini bwe njogerako. Nnabusoma enfunda n’enfunda, naye ssaalaba we bukwataganira na Bwakabaka bwa Katonda oba n’omwaka 1914.

Cameron: John, ekyo tekisaanidde kukweraliikiriza kubanga ne nnabbi Danyeri kennyini teyategeera makulu g’ebyo bye yaluŋŋamizibwa okuwandiika!

John: Okikakasa?

Cameron: Yee. Wano mu Danyeri 12:8, Danyeri yagamba nti: “Ne mpulira, naye ne sitegeera.”

John: Ekyo kyewuunyisa!

Cameron: Nnabbi Danyeri teyategeera makulu g’obunnabbi bwe yawandiika kubanga si kye kyali ekiseera ekituufu Katonda okumanyisa abantu amakulu gaabwo. Naye mu kiseera kino, tusobola okutegeera amakulu g’obunnabbi obwo.

 John: Ekyo okikakasiza ku ki?

Cameron: Weetegereze olunyiriri oluddako. Danyeri 12:9 wagamba nti: “Ebigambo bibikkiddwako era bissibbwako akabonero okutuusa ekiseera eky’enkomerero.” N’olwekyo obunnabbi buno bwali bwa kutegeerwa luvannyuma nnyo, mu ‘kiseera eky’enkomerero.’ Era nga bwe tujja okulaba mu katabo ke tusoma, waliwo obukakafu obulaga nti tuli mu kiseera eky’enkomerero. *

John: Ekitegeeza oyinza okunnyamba okutegeera obunnabbi obukwata ku kirooto kya Nebukadduneeza?

Cameron: Bayibuli yennyini esobola okutuyamba okubutegeera.

EKIROOTO KYA NEBUKADDUNEEZA

Cameron: Ka tusooke twogere mu bufunze ku ebyo Kabaka Nebukadduneeza bye yalaba mu kirooto. N’oluvannyuma tulabe amakulu gaabyo.

John: Kale.

Cameron: Mu kirooto, Nebukadduneeza yalaba omuti omunene ennyo era nga muwanvu, nga gutuukira ddala ku ggulu. Oluvannyuma yawulira nga malayika wa Katonda alagira nti omuti ogwo gutemebwe. Naye Katonda yagamba nti ekikonge kyagwo kirekebwe mu ttaka. Nga wayiseewo ebbanga lya ‘biseera musanvu,’ omuti ogwo gwandirose. * Obunnabbi buno okusookera ddala bwali bukwata ku Kabaka Nebukadduneeza kennyini. Wadde nga yali Kabaka wa maanyi nnyo, ng’omuti omuwanvu ogutuukira ddala ku ggulu, yatemebwa ne wayitawo ‘ebiseera musanvu.’ Omanyi engeri ekyo gye kyabaawo?

John: Nedda.

Cameron: Bayibuli eraga nti Nebukadduneeza yamala emyaka musanvu nga mulalu. Mu kiseera ekyo yali tasobola kufuga nga kabaka. Naye ebiseera omusanvu bwe byaggwaako, yawona eddalu n’addamu okufuga. *

John: By’oyogedde byonna mbitegedde. Naye bikwatagana bitya n’Obwakabaka bwa Katonda, era n’omwaka 1914?

Cameron: Mu bufunze, obunnabbi buno bwali bwa kutuukirizibwa emirundi ebiri. Okutuukirizibwa okwasooka kwaliwo Kabaka Nebukadduneeza bwe yaggibwa ku bwakabaka okumala ekiseera. Okutuukirizibwa okw’okubiri kwe kukwata ku Bwakabaka bwa Katonda.

John: Omanya otya nti obunnabbi obwo bukwata ne ku Bwakabaka bwa Katonda?

Cameron: Obunnabbi obwo bwennyini busobola okutuyamba okukimanya. Wano mu Danyeri 4:17 walaga nti obunnabbi obwo bwaweebwa, abantu “balyoke bategeere ng’Oyo Ali Waggulu ennyo [y’afugira] mu bwakabaka bw’abantu, era ng’abuwa buli gw’ayagala.” Weetegerezza ebigambo ‘obwakabaka bw’abantu’?

John: Yee, olunyiriri lugambye nti “Oyo Ali Waggulu ennyo [y’afugira] mu bwakabaka bw’abantu.”

Cameron: Weebale nnyo. Olowooza “Oyo Ali Waggulu ennyo” y’ani?

John: Ye Katonda.

Cameron: Kituufu. Ekyo kiraga nti obunnabbi buno tebukwata ku Nebukadduneeza yekka. Bukwata ne ku “bwakabaka bw’abantu,” kwe kugamba, Obufuzi bwa Katonda ku bantu. Era obunnabbi obulala obuli mu kitabo kya Danyeri busobola okutuyamba okutegeera obulungi ensonga eyo.

John: Bunnabbi ki obwo?

ENSONGA ENKULU EYOGERWAKO MU KITABO KYA NNABBI DANYERI

Cameron: Emirundi mingi, ekitabo kya Danyeri kyogera ku kussibwawo kw’Obwakabaka bwa Katonda obujja okufuga ensi mu biseera eby’omu maaso, era nga Yesu y’ajja okuba Kabaka waabwo. Ng’ekyokulabirako, ka tulabe Danyeri 2:44. Nkusaba osome olunyiriri olwo.

John: Kale. Lugamba nti: “Mu mirembe gya bakabaka abo, Katonda ow’eggulu alissaawo obwakabaka, obutalizikirizibwa emirembe gyonna, so n’okufuga kwabwo tekulirekerwa ggwanga ddala: naye bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka  obwo bwonna, era bunaabeereranga emirembe gyonna.”

Cameron: Weebale nnyo. Olowooza olunyiriri luno lwogera ku Bwakabaka ki?

John: Hmm. Simanyi.

Cameron: Weetegereze nti Obwakabaka obwo ‘bujja kubeerawo emirembe gyonna.’ Olowooza ku Bwakabaka bwa Katonda n’obufuzi bw’abantu buliwa obusobola okubeerawo emirembe gyonna?

John: Obwakabaka bwa Katonda.

Cameron: Ekyo kiraga nti olunyiriri olwo lwogera ku Bwakabaka bwa Katonda. Waliwo obunnabbi obulala mu kitabo kya Danyeri obwogera ku Bwakabaka obwo. Buli mu Danyeri 7:13, 14. Nga bwogera ku Kabaka w’Obwakabaka obwo, obunnabbi obwo bugamba nti: “N’aweebwa okufuga, n’ekitiibwa, n’obwakabaka, abantu bonna, amawanga n’ennimi, bamuweerezenga: okufuga kwe kwe kufuga okw’emirembe gyonna okutaliggwaawo, n’obwakabaka bwe bwe butalizikirizibwa.” Obunnabbi buno bukwata ku ki?

John: Nabwo bukwata ku bwakabaka.

Cameron: Oli mutuufu. Ate era weetegereze nti Obwakabaka obwo bwa njawulo, kubanga bujja kufuga “abantu bonna, amawanga, n’ennimi.” Ekyo kiraga nti bujja kufuga ensi yonna.

John: Mbadde sitegedde makulu ga kyawandiikibwa ekyo.

Cameron: Ate era weetegereze obunnabbi kye bugamba: “Okufuga kwe kwe kufuga okw’emirembe gyonna okutaliggwaawo, n’obwakabaka bwe bwe butalizikirizibwa.” Olowooza obunnabbi obwo bukwatagana n’obwo bwe tusomye mu Danyeri 2:44?

John: Bukwatagana.

Cameron: Kati ka tusooke twejjukanye ebyo bye twakayiga. Obunnabbi obuli mu Danyeri essuula 4 bwaweebwa, abantu basobole okumanya nti “Oyo Ali Waggulu ennyo [y’afugira] mu bwakabaka bw’abantu.” Kino kiraga nti obunnabbi obwo tebwali bwa kutuukirizibwa ku Nebukadduneeza yekka, wabula ku kigero ekisingawo. Ate era olw’okuba obunnabbi bungi obuli mu kitabo kya Danyeri bukwata ku Bwakabaka bwa Katonda, obunnabbi obuli mu Danyeri esuula 4 nabwo buteekwa okuba nga bukwata Bwakabaka bwa Katonda.

John: Ekyo nkirabye, naye sinnalaba we bukwataganira na mwaka 1914.

‘EBISEERA MUSANVU BIYITEWO’

Cameron: Kijjukire nti omuti gwe twalabye mu Danyeri essuula 4 gukiikirira Kabaka Nebukadduneeza. Obufuzi bwamuggibwako omuti bwe gwatemebwa ne wayitawo ebiseera musanvu, kwe kugamba, ekiseera kye yamala nga mulalu. Ebiseera ebyo omusanvu byaggwaako Nebukadduneeza bwe yawona eddalu n’addamu okufuga. Mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi obwo okw’okubiri, obufuzi bwa Katonda bwataataaganyizibwa okumala ekiseera; naye ekyo tekitegeeza nti Katonda yali alemereddwa.

John: Obufuzi bwa Katonda bwataataaganyizibwa butya?

Cameron: Mu biseera eby’edda, bakabaka ba Isiraeri abaafugiranga mu kibuga Yerusaalemi baabanga batudde ku “ntebe ya Mukama.” * Baafuganga abantu nga bakiikirira Katonda. N’olwekyo obufuzi bwa bakabaka abo bwali bukiikirira obufuzi bwa Katonda. Naye ekiseera bwe kyayitawo, abasinga obungi ku bakabaka abo awamu n’abo be baali bafuga baajeemera Katonda. Olw’obujeemu obwo Katonda yabaleka ne bawangulwa Abababulooni mu mwaka gwa 607, ng’embala eno tennatandika.  Okuva mu kiseera ekyo, tewaaliwo kabaka yenna mu Yerusaalemi eyali akiikirira Yakuwa. Tukyali ffenna?

John: Yee, tukyali ffenna.

Cameron: N’olwekyo ebiseera omusanvu kye kiseera ekyandiyiseewo nga bakabaka abo abaali bakiikirira Katonda tebakyafuga, era ekiseera ekyo kyatandika mu mwaka gwa 607, ng’embala eno tennatandika. Ku nkomerero y’ebiseera omusanvu, Katonda yanditaddewo Kabaka omupya eyandimukiikiridde, naye Kabaka oyo yandifuze ng’asinziira mu ggulu. Mu kiseera ekyo obunnabbi obulala bwe tusoma mu kitabo kya Danyeri lwe bwandituukiriziddwa. Ebiseera omusanvu we byaggweerako, Obwakabaka bwa Katonda lwe bwatandika okufuga. Kati ekibuuzo ekikulu kye tusaanidde okwebuuza kiri nti: Ebiseera omusanvu byaggwaako ddi?

John: Ky’oyagala okugamba ebiseera omusanvu byaggwaako mu 1914?

Cameron: Ky’ekyo kyennyini!

John: Naye ekyo tukimanya tutya?

Cameron: Yesu bwe yali ku nsi, yalaga nti ebiseera omusanvu byali tebinnaggwaako. * N’olwekyo ekiseera ekyo kiwanvu ddala. Ebiseera omusanvu byatandika emyaka mingi emabega nga Yesu tannajja ku nsi, era byeyongerayo emyaka mingi ng’amaze okuddayo mu ggulu. Ate era kijjukire nti obunnabbi bwa Danyeri bwali bwa kutegeerwa mu ‘kiseera eky’enkomerero.’ * Eky’essanyu, mu myaka gya 1800, abayizi ba Bayibuli abeesimbu baatandika okwekenneenya obunnabbi buno n’obulala obuli mu Bayibuli. Oluvannyuma lw’ekiseera baakitegeera nti ebiseera omusanvu byandiweddeko mu 1914. Ebizze bibaawo mu nsi byongera okukakasa nti mu 1914, Obwakabaka bwa Katonda bwatandika okufugira mu ggulu. Mu mwaka ogwo, ennaku ez’oluvannyuma oba ekiseera eky’enkomerero lwe kyatandika. Nkimanyi nti obunnabbi buno buyinza obutakwanguyira kutegeera mangu.

John: Bwo si bwangu, naye nja kuddamu okwekenneenya ebyawandiikibwa ebyo nsobole okubutegeera obulungi.

Cameron: Ojja kubutegeera mpolampola. Nange obunnabbi buno bwantwalira ekiseera ekiwerako okubutegeera obulungi. Naye ndowooza kati okitegedde nti ebyo Abajulirwa ba Yakuwa bye bayigiriza ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda byesigamiziddwa ku Bayibuli.

John: Nkitegedde bulungi. Nneewuunya nnyo engeri gye mukozesaamu Bayibuli okunnyonnyola enzikiriza zammwe.

Cameron: Era nkirabye nti naawe wandyagadde buli ky’okkiririzaamu kibe nga kyesigamiziddwa ku Bayibuli. Oyinza okuba ng’okyalina ebibuuzo bye weebuuza ku nsonga ze twogeddeko leero. Ng’ekyokulabirako, tutegedde nti ebiseera omusanvu bikwata ku Bwakabaka bwa Katonda era nti byatandika mu mwaka gwa 607, ng’embala eno tennatandika. Naye tukakasa tutya nti ebiseera bino omusanvu byaggwaako mu 1914? *

John: Ekyo kye njagala okumanya.

Cameron: Bayibuli yennyini etuyamba okutegeera obuwanvu bw’ebiseera omusanvu. Olunaku lwe nnaakomawo ekyo kye tujja okwogerako. *

John: Kale. Nja kuba nkulindiridde.

Waliwo ekibuuzo kyonna ekikwata ku Katonda oba ekikwata ku nzikiriza z’Abajulirwa ba Yakuwa kye weebuuza? Bwe kiba bwe kityo, tolonzalonza kubuuza Mujulirwa wa Yakuwa yenna gw’onooba osisinkanye. Ajja kuba musanyufu nnyo okukubaganya naawe ebirowoozo ku nsonga ng’ezo.

^ par. 5 Abajulirwa ba Yakuwa balina enteekateeka ey’okuyigiriza abantu Bayibuli ku bwereere.

^ par. 63 Mu bunnabbi bwe obukwata ku kiseera eky’enkomerero, Yesu yagamba nti: “Yerusaalemi [ekibuga ekyali kikiikirira obufuzi bwa Katonda] kiririnnyirirwa amawanga, okutuusa ebiseera ebigereke eby’amawanga lwe biriggwaako.” (Lukka 21:24) N’olwekyo ne mu kiseera Yesu we yabeerera wano ku nsi tewaaliwo kabaka yali akiikirira Katonda, era ekyo kyandibadde bwe kityo okutuusa mu kiseera eky’enkomerero.

^ par. 67 Laba ekitundu ekiri mu ebyongerezeddwako ekirina omutwe, “1914—Omwaka Omukulu Ennyo mu Bunnabbi bwa Baibuli” mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?

^ par. 69 Mu katabo akanaddako, tujja kulaba ebyawandiikibwa ebiraga obuwanvu bw’ebiseera omusanvu.