Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

 BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW’ABANTU

Nnali Nneerowoozaako Nnyo

Nnali Nneerowoozaako Nnyo
  • NNAZAALIBWA: 1951

  • ENSI: BUGIRIMAANI

  • EBYAFAAYO: NNALINA AMALALA ERA NGA SEEGUYA MUNTU YENNA

OBULAMU BWANGE BWE BWALI:

Bwe nnali nkyali muto, twali tubeera kumpi n’ekibuga Leipzig mu Bugirimaani ow’Ebuvanjuba, okumpi n’ensalo eyawula eggwanga lya Czech Republic n’erya Poland. Olw’emirimu taata gye yali akola, twasengukira e Brazil ate oluvannyuma ne tusengukira mu Ecuador. Mu kiseera ekyo nnalina emyaka mukaaga.

Bwe nnaweza emyaka 14, nnatwalibwa mu ssomero ly’ekisulo mu Bugirimaani. Olw’okuba bazadde bange baali babeera wala nnyo, mu Amerika ow’Ebukiikaddyo, nnalina okwerabirira. Olw’okuba buli kimu nnali nkyekolera, nnali seeguya muntu yenna. Nnali sifaayo ku ngeri ebyo bye nnali nkola gye byayisangamu abalala.

Bazadde bange baakomawo mu Bugirimaani nga ndi wa myaka 17. Nnasooka ne mbeera nabo, naye olw’okuba nnali mmanyidde okubeera nzekka, nnali sikyayagala bazadde bange kuŋŋamba kya kukola. Bwe nnaweza emyaka 18, nnava awaka.

Nnatandika okwebuuza obanga ddala obulamu bulina ekigendererwa. Nnagendako mu bibiina eby’enjawulo nsobole okukizuula. Oluvannyuma nnakiraba nti ekisinga obulungi kye nnali nnyinza okukola mu bulamu kwe kulambula ebitundu by’ensi ebitali bimu ng’abantu tebannagisaanyaawo.

Nnavuga pikipiki yange okuva e Bugirimaani ne ŋŋenda mu Afirika. Naye oluvannyuma lw’ekiseera kitono nnalina okuzzaayo pikipiki yange e Bulaaya ekanikibwe. Lumu nnagendako ku bbiici emu mu Portugal. Eyo gye nnasalirawo okulekera awo okutambulira ku pikipiki, ntandike okukozesanga eryato.

Nneegatta ku kibinja ky’abavubuka abaali bateekateeka okugenda okulambula ebitundu ebitali bimu nga bayita ku guyanja Atlantic. Omu ku bo yali ayitibwa Laurie, oluvannyuma ye yafuuka mukyala wange. Twasooka kugenda ku bizinga by’omu Caribbean. Twabeerako katono mu Puerto Rico, oluvannyuma ne tuddayo e Bulaaya. Nze ne Laurie twali twagala tukole eryato tulifuule amaka gaffe nga tubeera ku mazzi buli kiseera. Naye oluvannyuma lw’emyezi esatu gyokka, bampita okuweereza mu ggye lya Bugirimaani ery’oku mazzi.

Nnamala emyezi 15 mu ggye eryo. Mu kiseera ekyo, nze ne Laurie twafumbiriganwa era ne tusalawo tuddemu okulambula  ebitundu by’ensi ebitali bimu. Bwe nnali sinnayingira magye, twali tuguze ebimu ku bintu eby’okukolamu eryato. Bwe nnali mu magye, twatandika okukola eryato eryo. Twali twagala tulitambulirengamu nga bwe tulambula ebitundu by’ensi ebitali bimu. Mu kiseera ekyo nga tetunnamaliriza lyato lyaffe, Abajulirwa ba Yakuwa baatukyalira ne tutandika okuyiga Bayibuli.

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE:

Mu kusooka nnali siraba nkyukakyuka yonna gye nnali nneetaaga kukola mu bulamu bwange. Nnali nnagattibwa ne Laurie, ate nga nnalekera awo okunywa ssigala. (Abeefeso 5:5) Ate era twali tulaba nga si kibi okutambula mu bitundu by’ensi ebitali bimu nga tulambula ebitonde bya Katonda.

Wadde kyali kityo, waliwo enkyukakyuka ze nnali nneetaaga okukola. Nnalina amalala mangi era nga seeguya muntu yenna; nnali nneerowoozaako nnyo.

Lumu, nnasoma ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo essuula 5-7. Mu kusooka, saategeera Yesu kye yali ategeeza bwe yali ayogera ku ngeri y’okufunamu essanyu. Ng’ekyokulabirako, yagamba nti balina essanyu abo abalumwa enjala n’ennyonta. (Matayo 5:6) Nneebuuza engeri omuntu gy’ayinza okuba omusanyufu ng’ate ali mu bwetaavu. Bwe nneeyongera okuyiga Bayibuli, nnakizuula nti buli muntu alina obwetaavu obw’eby’omwoyo era nti okusobola okukola ku bwetaavu obwo alina okukkiriza nti abulina. Yesu yagamba nti: “Balina essanyu abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.”Matayo 5:3.

Bwe twali twakatandika okuyiga Bayibuli, nze ne mukyala wange twava e Bugirimaani ne tugenda e Bufalansa ate oluvannyuma ne tugenda e Itale. Buli gye twagendanga, twasangangayo Abajulirwa ba Yakuwa. Nnakwatibwako nnyo okulaba ng’Abajulirwa ba Yakuwa baagalana nnyo era bali bumu okwetooloola ensi yonna. (Yokaana 13:34, 35) Oluvannyuma lw’ekiseera nze ne mukyala wange Laurie, twabatizibwa ne tufuuka Abajulirwa ba Yakuwa.

Bwe nnamala okubatizibwa, nneeyongera okukola enkyukakyuka mu bulamu bwange. Nze ne Laurie twasaabala ne tutuuka ku lubalama lw’oguyanja Atlantic oluli ku ssemazinga wa Afirika, oluvannyuma ne tuyita ku guyanja ogwo ne tutuuka mu Amerika. Bwe twali mu buziba bw’ennyanja ffekka mu lyato lyaffe, nnakitegeera nti nnali sirina kye ndi bwe nneegeraageranya ku Mutonzi w’ebintu byonna ow’ekitalo. Olw’okuba saalina bya kukola bingi nga tuli eyo mu buziba bw’ennyanja, ebiseera ebisinga nnasomanga Bayibuli. Okusingira ddala, nnanyumirwanga nnyo okusoma ku ebyo Yesu bye yakola ng’ali ku nsi. Yali atuukiridde era ng’asobola okukola buli kimu, naye teyalina malala. Mu kifo ky’okwerowoozaako, yakolanga ng’ebyo Kitaawe ow’omu ggulu by’ayagala.

Nnakiraba nti nnali nneetaaga okukulembeza Obwakabaka bwa Katonda mu bulamu bwange

Bwe nnafumiitiriza ku ebyo Yesu bye yakola, nnakiraba nti nnali nneetaaga okukulembeza Obwakabaka bwa Katonda mu kifo ky’okwemalira ku ebyo nze bye njagala. (Matayo 6:33) Nze ne mukyala wange bwe twatuuka mu Amerika, twasalawo okukomya eŋŋendo zaffe, tusobole okuweereza Katonda waffe mu bujjuvu.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU:

Bwe nnali sinnayiga Bayibuli, nnali simanyi ngeri ya kusalawo bulungi. Naye, kati nnina we nnyinza okuggya amagezi ge nneetaaga okusobola okusalawo obulungi. (Isaaya 48:17, 18) Ate era, okusinza Katonda n’okuyamba abalala okuyiga ebimukwatako binnyambye okuba n’obulamu obw’amakulu.

Okuva lwe twatandika okukolera ku misingi gya Bayibuli, obufumbo bwaffe bweyongedde okunywera. Ate era tuli basanyufu nnyo kubanga muwala waffe amanyi Yakuwa era amwagala nnyo.

Tufunye okusoomoozebwa okutali kumu mu bulamu bwaffe. Naye olw’okuba Yakuwa atuyamba, tuli bamalirivu okweyongera okumuweereza n’okumwesigira ddala.Engero 3:5, 6.