Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obumalirivu busobola okugeraageranyizibwa ku nnanga eyamba eryato obutatwalibwa muyaga

ABAFUMBO

1: Obumalirivu

1: Obumalirivu

KYE KITEGEEZA

Abaami n’abakyala abamaliridde okunywerera mu bufumbo bwabwe, obufumbo obwo babutwala nga bwa nkalakkalira era buli omu aba yeesiga munne. Buli omu aba mukakafu nti munne ajja kumunywererako ne mu mbeera enzibu.

Abafumbo abamu bawalirizibwa okunywerera mu bufumbo bwabwe olw’okwagala okusanyusa ab’eŋŋanda zaabwe ne mikwano gyabwe. Naye abafumbo bwe baba nga buli omu amaliridde okunywerera ku munne olw’okuba amwagala era olw’okuba amussaamu ekitiibwa, kiyamba obufumbo bwabwe okuba obunywevu.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Omwami talekanga mukyala we.”​—1 Abakkolinso 7:11.

“Bw’oba omaliridde okunywerera mu bufumbo bwo, ojja kukimanya nti munno oluusi ajja kukola ebintu ebikunyiiza. Ojja kuba mwetegefu okumusonyiwa oba okumwetondera. Ojja kukimanya nti ebizibu bwe bijjawo bisobola okugonjoolwa so si okuviirako obufumbo bwammwe okusattulukuka.”​—Micah.

ENSONGA LWAKI KIKULU

Abafumbo abatamaliridde kunywerera mu bufumbo bwabwe bwe bafuna ebizibu bagamba nti, ‘Ffe tetusobola kukwatagana,’ era banoonya engeri yonna ey’okwawukanamu.

“Abantu bangi bayingira obufumbo nga balina endowooza egamba nti ‘bwe birirema nga tugattululwa.’ Abantu bwe bayingira obufumbo nga balina endowooza ng’eyo, tebaba bamalirivu kunywerera mu bufumbo bwabwe.”​—Jean.

KY’OYINZA OKUKOLA

WEEKEBERE

Bwe muba nga mufunye obutakkaanya . . .

  • Wejjusa ensonga lwaki mwafumbiriganwa?

  • Owulira nga wandibadde musanyufu singa wafumbirwa oba wawasa muntu mulala?

  • Oyogera ebigambo gamba nga, “Nja kukuviira” oba “Nja kufunayo omuntu antwala nti ndi wa muwendo”?

Bw’oba ng’ozzeemu nti yee mu kimu ku bibuuzo ebyo, kati kye kiseera okumalirira okunyweza obufumbo bwo.

KUBAGANYA EBIROWOOZO N’OMWAMI WO OBA NE MUKYALA WO KU BIBUUZO BINO

  • Obufumbo bwaffe tebukyali bunywevu nga bwe bwali? Bwe kiba kityo, lwaki?

  • Biki bye tusobola okukola okunyweza obufumbo bwaffe?

AMAGEZI

  • Olumu n’olumu wandiikirayo munno akabaluwa ng’omugamba nti omwagala

  • Kirage nti onyweredde ku mu munno mu bufumbo ng’otimba ekifaananyi kye w’okolera

  • Buli lunaku munno mukubire ku ssimu lw’oba nga toli naye, oboolyawo ng’oli ku mulimu oba awantu awalala wonna

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Katonda ky’agasse awamu, omuntu yenna takyawulangamu.”​—Matayo 19:6.