Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okwogera ne munno mu ngeri eraga nti omussaamu ekitiibwa kiyinza okugeraageranyizibwa ku seminti asiba awamu bbulooka

ABAFUMBO

3: Okuwaŋŋana Ekitiibwa

3: Okuwaŋŋana Ekitiibwa

KYE KITEGEEZA

Omwami n’omukyala bwe baba bawaŋŋana ekitiibwa, buli omu aba afaayo ku munne ne bwe baba nga bafunye obutakkaanya. Ekitabo ekiyitibwa Ten Lessons to Transform Your Marriage kigamba nti: Abafumbo ng’abo “beewala okussaawo embeera ekifuula ekizibu gye bali okukkaanya. Mu kifo ky’ekyo, boogera ku butakkaanya obuba buzzeewo. Buli omu awuliriza munne era baba beetegefu okwerekereza ebintu ebimu basobole okuba mu mirembe.”

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Okwagala . . . tekwenoonyeza byakwo.”​—1 Abakkolinso 13:4, 5.

“Nkiraga nti mpa mukyala wange ekitiibwa nga mmutwala nga wa muwendo era nga nneewala okukola ekintu kyonna ekimuyisa obubi oba ekiyinza okwonoona obufumbo bwaffe.”​—Micah.

ENSONGA LWAKI KIKULU

Omwami n’omukyala bwe baba nga tebawaŋŋana kitiibwa, buli omu atera okunoonya ensobi mu munne, amukiina, era amunyooma, era obwo bubonero obulaga nti obufumbo obwo buyinza okusasika.

“Okujerega mukyala wo oba okwogera ebigambo ebimukoona, kisobola okumumalamu amaanyi n’okumuleetera okulekera awo okukwesiga.”—Brian.

KY’OYINZA OKUKOLA

WEEKEBERE

Weetegereze engeri gy’oyogeramu ne munno n’engeri gy’omuyisaamu okumala wiiki nnamba. Oluvannyuma weebuuze:

  • ‘Mirundi emeka gye nnoonyezza ensobi mu munnange era mirundi emeka gye mmwebazizza olw’ebirungi by’akoze?’

  • ‘Nkiraze ntya nti mpa munnange ekitiibwa?’

KUBAGANYA EBIROWOOZO N’OMWAMI WO OBA NE MUKYALA WO KU BIBUUZO BINO

  • Biki buli omu ku mmwe by’asobola okukola oba okwogera okuleetera munne okuwulira nti assibwamu ekitiibwa?

  • Biki bye mukola ne bye mwogera ebireetera buli omu ku mmwe okuwulira nti tassibwamu kitiibwa?

AMAGEZI

  • Wandiika ebintu bisatu by’oyagala munno akole okulaga nti akussaamu ekitiibwa. Naye mugambe akole kye kimu. Mukwase akapapula k’owandiiseeko era naye akukwase k’awandiiseeko era mwembi mufube okutereeza we mwetaaga okutereeza.

  • Kola olukalala lw’ebintu ebikusanyusa ku munno, era mutegeeze nti osiima ebintu ebyo.

“Nkiraga nti omwami wange mmussaamu ekitiibwa nga nkyoleka mu bye nkola nti mmutwala nga wa muwendo era nti njagala abe musanyufu. Tekyetaagisa bintu binene; obuntu obutonotono bwe nkola oba obugambo bwe njogera busobola okulaga nti mmussaamu ekitiibwa.”​—Megan.

N’olwekyo, ekikulu si kwe kuba nti ggwe owulira nti ossaamu munno ekitiibwa, wabula ekikulu kwe kuba nti ye kennyini awulira nti omussaamu ekitiibwa.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Mwambale obusaasizi, ekisa, obuwombeefu, obukkakkamu n’obugumiikiriza.”​—Abakkolosaayi 3:12.