ZUUKUKA Na. 5 2016 | Ddala Yesu Yaliyo?

Ebyafaayo bikakasa bitya nti ddala yaliyo?

OMUTWE OGULI KUNGULU

Ddala Yesu Yaliyo?

Waliwo obukakafu obulaga nti ddala Yesu yaliyo?

EBIFA MU NSI

Ebikwata ku Ssemazinga wa Amerika

Ebimu ku bizibu ebitawaanya ennyo abantu ku ssemazinga wa Amerika kwe kweraliikirira ennyo n’obumenyi bw’amateeka. Bayibuli esobola okuyamba abantu ng’abo?

EBIYAMBA AMAKA

Okuyigiriza Abaana Bo Ebikwata ku Kwegatta

Abaana batandika okulaba oba okuwulira ebintu ebikwata ku kwegatta nga bakyali bato. Kiki ky’osaanidde okumanya? Kiki ky’oyinza okukola okukuuma abaana bo?

Akatoffaali Akeewuunyisa

Akatoffaali kano ka mugaso nnyo mu bulamu. Katoffaali ki ako, era lwaki kakulu nnyo?

BAYIBULI KY'EGAMBA

Okusiima

Okusiima abalala kivaamu emiganyulo mingi. Kisobola kitya okukuganyula, osobola otya okukulaakulanya engeri eyo?

EBYAFAAYO

Aristotle

Enjigiriza za Aristotle zaatandika okuyigirizibwa mu makanisa ga Kristendomu.

“Eno Ngeri Mpya ey’Okuyigiriza!”

Abasomesa n’abantu abalala beeyongedde okwettanira vidiyo eziri ku jw.org.