Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

BAYIBULI KY’EGAMBA

Okusiima

Okusiima

Okusiima kulimu emiganyulo mingi era buli muntu yandifubye okukulaakulanya engeri eyo.

Okusiima kukuyamba kutya okuba n’obulamu obulungi?

ABASAWO KYE BAGAMBA

Akatabo k’eby’obulamu akayitibwa Harvard Mental Health Letter, kaagamba nti: “Okusiima kuleetera omuntu okuba omusanyufu. Kumuleetera okuwulira obulungi, okuba n’obulamu obulungi, era kumuyamba okwaŋŋanga embeera enzibu n’okufuna emikwano.”

AYIBULI KY’EGAMBA

Bayibuli etukubiriza okusiima abalala. Omutume Pawulo agamba nti: “Mulage nti musiima.” Pawulo yassaawo ekyokulabirako ekirungi mu kusiima abalala. ‘Yeebazanga Katonda obutayosa’ olw’abantu abakkirizanga obubaka bwe yali abuulira. (Abakkolosaayi 3:15; 1 Abassessalonika 2:13) Omuntu okusobola okufuna essanyu erya nnamaddala, alina okugifuula empisa ye okusiima abalala. Ekyo kimuyamba obutalowooza nti buli kiseera abalala be balina okumuwa. Ate era kimuyamba obutakwatirwa balala buggya, ekintu ekisobola okumuviirako okufiirwa emikwano, ne kimumalako essanyu.

Omutonzi waffe ataddewo ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka okusiima. Mu butuufu n’abantu obuntu abasiima! Abebbulaniya 6:10 wagamba nti: “Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n’okwagala kwe mwalaga erinnya lye.” Omutonzi waffe akitwala nti obutasiima kiba kikolwa ekitali kya butuukirivu.

“Musanyukenga bulijjo. Mwebazenga olwa buli kintu kyonna.”1 Abassessalonika 5:16, 18.

Okusiima kutuyamba kutya okuba n’enkolagana ennungi n’abalala?

OBUKAKAFU KYE BULAGA

Bwe tusiima omuntu yenna ng’aliko ky’atuwadde, oba ng’aliko ebigambo ebizzaamu amaanyi by’atugambye, oba ng’aliko ekintu ky’atukoledde, kimuleetera okuwulira obulungi. N’abantu be tutamanyi bawulira bulungi bwe tubeebaza nga baliko ekintu kye batukoledde, gamba ng’okutukwatira ku luggi nga tuyitawo.

BAYIBULI KY’EGAMBA

Yesu yagamba nti: “Mugabenga, nammwe abantu balibagabira. Balibayiira mu bikondoolo byammwe ekigera ekirungi, ekikkatiddwa, ekisuukundiddwa, era ekijjudde ne kibooga.” (Lukka 6:38) Lowooza ku muwala kiggala ayitibwa Rose abeera ku kizinga ky’e Vanuatu eky’omu South Pacific.

Rose yagendanga mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa naye nga taziganyulwamu nnyo kubanga mu kibiina mwe yali akuŋŋaanira, tewali n’omu yali amanyi lulimi lwa bakiggala ate nga Rose naye talumanyi. Ow’oluganda omu ne mukyala we bwe baakyalako mu kibiina ekyo ne balaba obuzibu obwaliwo, baasalawo okutandika okuyigiriza ab’oluganda mu kibiina ekyo olulimi lwa bakiggala. Ekyo kyasanyusa nnyo Rose. Yagamba nti: “Ndimusanyufu nnyo okuba n’emikwano emingi bwe giti abanjagala.” Okulaba engeri Rose gy’alagamu nti asiima ekyo kye baamukolera n’okuba nti kati abaako by’addamu mu nkuŋŋaana, kisanyusa nnyo ow’oluganda oyo ne mukyala we abaamuyamba. Rose era musanyufu nnyo olw’okuba ab’oluganda mu kibiina kye baafuba okuyiga olulimi lwa bakiggala basobole okwogera naye.Ebikolwa 20:35.

“Oyo awaayo gye ndi okwebaza nga ssaddaaka, [agulumiza Katonda].”Zabbuli 50:23.

Oyinza otya okukulaakulanya omwoyo ogw’okusiima?

BAYIBULI KY’EGAMBA

Ebyo bye tufumiitirizaako bikwata ku nneewulira zaffe. Omuwandiisi wa Bayibuli ayitibwa Dawudi yasaba Katonda ng’agamba nti: “Ndowooza ku bikolwa byo byonna; nfumiitiriza ku mulimu gw’emikono gyo.” (Zabbuli 143:5) Dawudi yafangayo nnyo okwetegereza ebikolwa bya Katonda n’okubifumiitirizaako, era ekyo kyamuleetera okusiima Katonda.Zabbuli 71:5, 17.

Bayibuli egamba nti: ‘Ebintu byonna ebituufu, ebyagalibwa, ebyogerwako obulungi, ebirungi, n’ebitenderezebwa, mweyongere okubirowoozangako.’ (Abafiripi 4:8) Ebigambo “mweyongere okubirowoozangako” nabyo biraga nti bulijjo twetaaga okufumiitirizanga, kituyambe okukulaakulanya omwoyo ogw’okusiima.

“Okufumiitiriza kw’omutima gwange kujja kwoleka okutegeera.”Zabbuli 49:3.